Ebitongole ebikuuma ddembe ebitamanyiddwa bakutte abantu basatu (3) ku misango gy’okulya abantu mu bitundu bye Gulu.
Abakwate bagiddwa ku kyalo Kanyagoga ‘A’ Cell mu ggoombolola y’e Bardege-Layibi mu kibuga kye Gulu.
Florence Atoo, ssentebe w’ekyalo Kanyagoga ‘A’ Cell, agamba nti abakwate kuliko omukyala ategerekeseeko erya Florence, bba n’omusajja.
Atoo agamba nti okukwatibwa, kidiridde okuzuula ebintu ebyefananyirizaako ebitundu by’abantu omuli amagumba nga biteekeddwa mu kaveera mu nnyumba y’omukyala Florence ne bba.
Abakwate baludde nga bapangisa ku nnyumba z’omukyala Jennifer Auma. Auma agamba nti omukyala abadde alina Resitolanti kyokka omusajja tamanyikiddwa bimukwatako.
Ate omuwandiisi w’ekyalo Kaunda Oyet, agamba nti omusango gutwaliddwa eri omubaka wa Pulezidenti (Resident City Commissioner – RDC) okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Mungeri y’emu agamba nti bagenda kuwandiisa abatuuze bonna abali ku kyalo, okuzuula ebibakwatako.
Ate David Ongom Mudong, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa agamba nti Poliisi etandiise okunoonya, okuzuula ebitongole ebikuuma ddembe ebyakutte abatuuze abo.
Ate abatuuze bakyasobeddwa olw’ebitundu by’abantu ebyasangiddwa mu nnyumba.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=pyuDqN9dyqY