Minisita w’ebyensimbi mu ggwanga Matia Kasaija, asobodde okwanjulira eggwanga, bajjeti abadde erindiriddwa eri mu butabalika obusuuka 30.
Gavumenti eyongedde okulinnyisa omusolo ku bitamiiza omuli wayini, bbiya ng’enkangaali. Wayini akolebwa mu birime bwawano mu Uganda assiddwaako omusolo gwa bitundu 30 ku 100 so nga wayini akolebwa ebweru w’eggwanga assiddwaako omusolo gwa bitundu 80 ku 100.
Gavumenti ereese omusolo gwa 200/- buli lunaku ku buli muntu lw’akozesa essimu ye ku mikutu migata bantu omuli gya Facebook, WhatsApp, Twitter n’emirala. Gavumenti yaakukung’aanya obuwumbi obusoba 284.
Gavumenti ekomezzaawo omusolo gwa bitundu 30 ku 100 ku Sacco ku magoba agakolebwa.
Gavumenti ereese omusolo omupya gwa 200/- ku buli liita ya butto nga kino kikoleddwa lwa nsonga ya bya bulamu, abantu bakendeeze okulya ebisiike, okutangira endwadde eziyinza okubalumbagana abantu.
Bodaboda ne pikipiki okufuna ennamba okuva mu kitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA), yaakusasula emitwalo 20 okuva ku 100,000/- ezibadde zisasulwa.
Gavumenti eyongedde omusolo gwa 100/- ku buli liita ya mafuta. Kino kitegeeza nti buli liita ya Peetulooli gavumenti egenda kugisoloozaako 1,200 / mu bajeti eggya okuva ku 1,100/.
Ku lw’obulungi bw’obutakiriza obutonde bw’ensi, emmotoka enkadde zonna ezaakolebwa wakati w’emyaka emyaka 15 ziwereddwa mu bajeti empya era Gavumenti yaakufiirwa obuwumbi obusuuka mu 180.

Bayinvesita abagwiira abalina kapito wa ddoola obukadde 30 (mu za Uganda obuwumbi nga 110) basonyiddwa okuwa emisolo ku bizimbisibwa so nga bayinvesita bannansi abalina kapito wa ddoola obukadde 10 (mu za Uganda obuwumbi buli 40) be basonyiyiddwa omusolo nabbo ku bizimbisibwa.
Ebyenjigiriza biteekeddwamu obuwumbi 2800 omuli okuzimba amassomero, n’okuddabiriza agaliwo.
Ate ebyobulamu,obuwumbi 2300, okuzimba amalwaliro, okutangira endwadde, okwongeza abasawo omusaala n’okuddabiriza amalwaliro amakadde.