Amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alangiridde okuwumula obukulembeze ku kakiiko akafuzi aka Yunivasite e Makerere.
Mu kiseera kino, Yunivasite eri mu ntekateeka z’okunoonya abantu abalala, okutuula ku kakiiko akafuzi aka Yunivasite.
Okusinzira ku muwandiisi wa Yunivasite Yusuf Kiranda, Tayebwa oluvanyuma lw’okulondebwa ku ky’okumyuka sipiika mu Palamenti y’eggwanga, alina emirimu mingi era yasuubiza nti tagenda kuddamu kusaba bukulembeze ku kakiiko akafuzi
Ekisanja kya Thomas Tayebwa kigwako mu Desemba, 2022.
Kiranda agamba nti nga 12, November, 2022, Tayebwa yasiibulwa mu butongole nga baamukolera akabaga mu ngeri y’okusiima ebirungi byakoleddwa Yunivasite.
Mu 2021, Tayebwa yalondebwa nga Nampala wa Gavumenti, ate oluvanyuma yalondebwa ku ky’okumyuka sipiika, oluvanyuma lwa Anita Annet Among, okulondebwa ku kya sipiika, okudda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah eyafa kkansa nga 20, March, 2022 mu kibuga Seattle, Washington mu ggwanga lya America.
Tayebwa abadde ku kakiiko akafuzi ku Yunivasite e Makerere okuva mu 2010.
Kigambibwa Tayebwa okuwumula obukulembeze ku kakiiko, yalabidde ku Kiryowa Kiwanuka eyawumula oluvanyuma lwa Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okumulonda ku bwa ssaabawolereza wa Gavumenti.
Tayebwa yazaalibwa nga 10, November, 1980 nga mu kiseera kino alina emyaka 42.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3duBMqNUwI4