Omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’ebyokwerinda, Major General Kasirye Ggwanga alabudde bannayuganda okomya okweyingiza mu nsonga z’ebitongole ebikuuma ddembe.

Maj Gen Kasirye Ggwanga agamba nti abantu abakyamu bangi nnyo abayingidde eggwanga lino era bannayuganda balina okuwa obudde ebitongole ebikuuma ddembe kuba birina ensonga lwaki Gen Kale Kayihura eyali adduumira Poliisi mu ggwanga lino yakwattiddwa.

Mungeri y’emu agambye nti ensonga y’okukwata Gen Kayihura balina okugigyamu ebyobufuzi kuba yakwattiddwa mu ngeri y’okutebenkeza ebyokwerinda.

Bwe yabadde awayamu ne bannamawulire ku mukutu ogwa NBS TV, Maj Gen Kasirye Ggwanga agamba nti ensonga z’ebyokwerinda, bannayuganda balina okuzirekera ebitongole ebikuuma ddembe era balina okomya okuzeyingizaamu.

Gen Kale Kayihura yakwatibwa sabiti ewedde okuva mu maka ge ku kyalo Kasagama, Lyantonde.

https://www.youtube.com/watch?v=2ygwIO7g2-s