Ow’emmundu..
Kyaddaki Poliisi mu bitundu bya Savannah eyogedde amannya g’omusajja eyakwatiddwa ku misango gy’okubba n’okutta abantu.
Bashir Lubega myaka 19 yeyakwatiddwa ku misango gy’okutta asikaali Leone Odongo myaka 20 okuva mu kitongole ekikuumi ekya SGA Security Company, eyali akuuma Advance Smart Micro Finance mu katawuni k’e Wobulenzi mu disitulikiti y’e Luweero nga 7, omwezi guno ogwa Desemba.
Lubega nga yali yeefudde omulalu, oluvanyuma lw’okutta asikaali Odongo, yabba emmundu ye, era okuva nga 7, omwezi guno ogwa Desemba, abatuuze bali mu kutya.
Okunoonyereza, kulaga nti Lubega yabba emmundu eyasooka ku asikaali okuva mu kitongole kya Pyramid Security Company, eyali agisibidde mu nnyumba ng’agenze kusaba era gye yakozesa okutta asikaali Odongo.
Ku myaka 19, abadde yava ewaka emyaka 4 egiyise era abadde alaba ffirimu, okwetendeke engeri y’okuba emmundu n’okutta omuntu.
Okusinzira kw’akola ng’omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Luweero mweri Patrick Lule, Lubega ali ku kitebe kya Poliisi e Luweero kyokka wadde baazudde emmundu 2, aliko mukwano gwe gw’abadde atendese okwenyigira mu kubba, aliira ku nsiko mu kiseera kino.
Era mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti abazadde obutafaayo ku baana baabwe, y’emu ku nsonga lwaki abavubuka abato nga Lubega, ate benyigidde mu bintu ebimenya amateeka.- https://www.youtube.com/watch?v=aLgAf7Ly04U