Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko ayongedde okulaga ensi nti ddala bali mu situlago, buli muntu alina okuvaayo.
Nyeko, alaze nti ddala kati musajja asajjakudde, alaze nti nti yale afunye omukyala mu bakyala, omulungi mu bakyala ate nga musufu nnyo mu nsonga z’okusinda omukwano.

Derrick Nyeko kati ali mu laavu


Mu bakyala bonna abali mu nsi, afunye olubiriizi lwe era kati, ekiddako kunoonya baana.
Okusinzira ku bifaananyi, ebiri mu kutambula ku mikutu migatta bantu, Nyeko nga musajja munnakibiina ki National Unity Platform (NUP), asabye muganzi we obufumbo.

Omubaka Nyeko kati afunye sayizi ye


Kigambibwa, oluvanyuma lw’okulondebwa ng’omubaka we Makindye East, kati musajja alina ku ssente era kino kye kiseera ekituufu, omukyala okumwanjula mu bazadde n’okumukube embaga.

Laba kye bayita Omukwano

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cGAa9i6rt30