Ekibiina ekitwala abayimbi mu gwanga ekya “Uganda Musician Association – UMA kivuddeyo ne kivumirira ekikolwa ekyakoleddwa omuyimbi Gereson Wabuyu amanyikidwa nga Gravity Omutujju eri muyimbi mune Joseph Mayanja amanyikidwa Dr Jose Chameleon olw’embeera eyamutuseeko akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga 10, Febwali, 2023.
UMA ng’ eyita ku mikutu okuli Twitter, Facebook, Instagram n’endala egamba nti tekkiriziganya na bigambo bya Gravity Omutujju nga yeebaza Katonda okuleeta enkuba eyaviiriddeko okusazaamu ekivvulu kya Chameleon ekya Gwanga Mujje ne siteegi okusigala ku ttaka.
Poliisi egamba nti abantu bataano (5) baafunye ebisago era batwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago.
Wabula UMA egamba nti ebigambo bya Gravity Omutujju biraga butayagaliza, busiwuufu bwa mpisa era UMA teyinza kuwagira bikolwa ng’ebyo.
UMA era egamba nti buli muyimbi alina okuwa muyimbi munne ekitiibwa wadde bayinza okufuna obutakaanya era bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng’abayimbi bakaanya ku nsonga ez’enjawulo.
Mu kiseera ng’abayimbi balina obutakaanya, UMA esabye bannabitone okulaba nti buli kye bakola, basigala nga kyakulabirako eri abantu abalala nga kiswaza, okusanyuka mu kiseera ng’abantu bali maziga.
Okuva sabiiti ewedde ku Lwokutaano, abategesi bali mu kwetekateeka okuddamu okunoonya olunnaku lw’ekivvulu omwezi guno Ogwokubiri. Waliwo ebigambibwa nti ekivvulu kyakuddamu nga 17, Febwali, 2023 ate abalala bagamba nti 24, Febwali, 2023.
Omuyimbi Ketchup okuva mu ggwanga lya Nigeria yali yatuuka mu Uganda Lwakusatu, nga 8, Febwali, 2023 okuyimbirako muyimbi munne Chameleon wabula kigambibwa agenda kuddayo kuba tasobola kulinda kutuusa ku lunnaku lwa kivvulu.
Chameleon yasuubiza abawagizi be, nti wadde byonna byabaddewo, agenda kusaba Gavumenti olukusa okuyimba okutuusa ssaawa 9 ez’ekiro, okuswaza sitaani.
Wadde Gravity Omutujju yasekeredde Chameleon, abayimbi abalala okuli Eddy Kenzo, Ykee Bender, Weasel Manizo n’abalala, baavuddeyo ku lwa munaabwe Chameleon.
Kivvulu Ggwanga Mujje kyabadde kitegekeddwa Biggie Events ate siteegi yabadde ezimbiddwa Fenon Records.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IxFq9J2JG2M