Ssemaka Sam Kayaaye ali myaka 27 yeggye mu bulamu bw’ensi, enkya ya leero, ekirese abatuuze ku kyalo Lukwanga – Ssenteme mu disitulikiti y’e Wakiso nga bali mu kiyongobero.
Ekivuddeko Kayaaye okwetta kikyatankanibwa ng’abamu ku batuuze bagamba nti abadde akooye embeera embi.
Bagamba
1 – Mukyala we omuto gw’abadde yakafuna oluvanyuma lwa mukyala mukulu okunoba, abadde alina omusajja omulala. Abatuuze bagamba nti Kayaaye yaddukidde mu ddwaaliro okwekebeza omusaayi ne bazuula nti mulwadde yafunye akawuka ka siriimu.
Oluvanyuma lw’okuzuula nti alina siriimu, obulamu bubadde bweyongedde okukyuka ng’alina ebirowoozo bingi nnyo. Agamba abadde yejjusa okufuna omukyala omulala eyaleese obulwadde.
2 – Abamu bagamba nti omugagga yabadde amugyeko Pikipiki gy’abadde avuga okunoonya eky’okulya, nga nayo, bagamba eyinza okuba emu ku nsonga lwaki akedde kwetta.
Oluvanyuma lw’okutwala mu kyalo abaana bonna beyasooka okuzaala mu mukyala mukulu, enkya ya leero, akedde kusindika mukyala muto ku ‘Mobile Money’ okuggyayo akasente era agenze okudda n’omusajja amaze okwetta.
Omulambo gwe, gusangiddwa mu nnyumba nga gulengejja nga okwetta asobodde okweyambisa ebigoye.
Wakati mu kutya, abatuuze bayitiddwa ne Poliisi era omulambo gugiddwaayo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk&t=271s