Okwanjula omusajja……….
Poliisi y’e Nsangi eri mu kunoonya omuwala Najjuko Bushura myaka 24, omutuuze ku kyalo Katereke Cell mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso.
Maama wa Bushura, Nalukenge Aisha agamba nti muwala we yabula nga 10, March, 2023 ku ssaawa nga 3 ez’oku makya bwe yabadde agenda ku dduka lya Shafuras Bride Make-up e Nakivubo mu Kampala okukola ‘henna’.
Najjuko yabadde alina okwanjula omusajja mu bazadde ku Ssande nga 12, March, 2023.
Najjuko ng’ali wali e Nakivubo, yafunye omusajja wa bodaboda Kivumbi Ali namuwa engoye okuzitwala awaka wabula ye (Najjuko) teyasobodde kudda waka n’okutuuka olwaleero.
Owa Saluuni agamba nti yayawukanye ne Najjuko mu ppaaka ya Takisi empya, buli omu okudda awaka.
Najjuko yabadde alina okwanjula omusajja Faruk Mugalu omutuuze we Kagoma mu bazadde.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi etandiise okunoonya Najjuko kwe kusaba buli muntu yenna alina amawulire agayinza okubayamba okuzuula Najjuko, okuvaayo okukolagana ne Poliisi.
Ate waliwo ebigambibwa nti Najjuko yadduse olwa famire okwagala okumufumbiza omusajja nga tamwagala.
Mbu omusajja yabadde mukulu nnyo kuba ye ali mu myaka 24, alina okunoonya omusajja ow’emyaka gye.
Jjajja myaka 78 awonye emiggo gy’abatuuze bw’asangiddwa lubona ng’asobya ku muzukkuluwe myaka 13.
Jjajja Edward Katarikawe nga mutuuze ku kyalo Kagona mu ggoombolola y’e Maziba yawonye okuttibwa.
Maama akedde kutuma mwana wa neyiba okuleeta ebijanjalo kyokka abadde addayo awaka ku ssaawa nga 8, kwe kusaanga jjajaawe mu kkubo.
Jjajja Katarikawe bwatyo akutte omwana namutwala mu lusuku lw’amatooke era bwatyo, engoye aziyuzizza okumusobyako nga bw’amukutte akamwa, okumutangira okuba enduulu.
Katarikawe bw’abadde asobya ku mwana, asangiddwa omu ku batuuze, akubye enduulu wabula bagenze okutuuka ng’omukadde ku myaka 78 ayingidde ensiko okwewala emiggo gy’abatuuze.
Abatuuze bekozeemu omulimu ne banoonya namukadde Katarikawe era ne bamukwata.
Omukadde atwaliddwa ku Poliisi y’e Maziba.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti essaawa yonna Katarikawe bamutwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rFROuRjG28Q