Omusezi akubiddwa emiggo enkya ya leero, era addusiddwa mu ddwaaliro e Semuto ng’ali mu mbeera mbi.

Ku kyalo Kawumu mu ggoombolola y’e Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero, omwana abadde akedde ogenda ku ssomero, asangiriza omusajja, nga yenna ali bukunya mu kifo webaziika abantu baabwe.

Abatuuze bagenze okuvaayo, ng’omusezi, yetoolodde ekifo awazikiddwa Esther Nakibirango sabiiti ewedde ku Lwokutaano.

Abatuuze bakubye enduulu, eyongedde okusomboola batuuze banaabwe era omusezi, abadde aliko ennyimba z’ayimba.

Ezimu ku nnyimba kubaddeko ‘Njagala kulya ku kibumba kuba kimpomera okamala’, ‘wulira akasu, kati ye ssaawa okulya ku nnyama’, ekitabudde abatuuze.

Abatuuze, tebalinze kuzikulayo mulambo gwabwe era omusezi akubiddwa amayinja, emiggo era Christopher Ssemafumu, akulira eby’okwerinda ku kyalo, watuukidde ng’ali mu mbeera si nungi.

Ssentebe w’ekyalo Josephine Nantume, akubidde Poliisi y’e Makulubita essimu era Poliisi esobodde okutaasa Omusezi, abadde agenda okuttibwa abatuuze, kwe kumuddusa mu ddwaaliro e Semuto.

Omusezi abadde akubiddwa ennyo era kabuze kata, omukono okutukako.

Embeera yonna, ssentebe Nantume agamba nti omusajja akubiddwa, tamanyikiddwa ku kyalo kyabwe wadde ebyalo ebiri okumpi.

Poliisi y’omu kitundu etandiise okunoonyereza ku musezi akwatiddwa.

Okutwalira amateeka mu ngalo kukyali kusoomozebwa kwa maanyi mu bitundu bye Luweero, Nakaseke ne Nakasongola era abantu bangi battiddwa.

Abamu ku batuuze bagamba nti abantu okwenyigira mu kutigomya abatuuze kyokka nga bali ku kyalo, y’emu ku nsonga lwaki battibwa singa bakwatibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1cV2IS35qXg