Poliisi eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku kyaviriddeko abatemu okutematema abatuuze b’e Kassanda.
Ku lw’omukaaga nga 25, March, 2023 Vicent Kasoma nga mutuuze ku kyalo Buswa mu ggoombolola y’e Kassanda y’omu ku baasimatuse abatemu era agamba nti abatemu baamenye oluggi ne bayingira enyumba ekiro era basaanze mukyala we Justin Nabukalu ng’atudde mu ddiiro kwekutandika okumutema wabula yakubye enduulu ng’akaaba era olwawulidde emiranga kwe kudduka okuggya mu ddiiro okulaba ekituseewo wabula yatuukidde mu maaso g’abatemu nga batema mukyala we era bwe yabadde agezaako okutaasa, yatemeddwa ekiso ku mukono.
Abatamu badduse oluvanyuma lw’okuwulira abatuuze nga baggya okutaasa mutuuze munaabwe.
Abatuuze baasobodde okutwala Kasoma ne Nabukalu mu ddwaaliro lya Kassanda Health center IV okufuna obujanjabi obusokebwako oluvanyuma kwe kutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mityana.
Mu ngeri y’emu abatemu baakomyewo ku ssaawa (8) ez’ekiro ne balumba amaka g’omwami Richard Wasswa ku kyalo Kokoowe ne bamutematema era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Mityana.
Akulira eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Kassanda Richard Tasobya agamba nti abatemu bakyalira ku nsiko naye poliisi ekola kyonna ekisoboka okubanoonya bavunaanibwe.
Wakati mu kunoonyereza, Poliisi eyongedde okunyweza ebyokwerinda era ewanjagidde abatuuze abalina amawulire okuvaayo okuyambagana ne Poliisi okunyweza abatemu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk&t=271s
Bya Nakimuli Emilly