Omuyimbi Murungi Shadiah Versatile amanyikiddwa nga Shaqinter Kazoora ayongedde okulaga nti ddala alina talenti.


Kazoora mukyala Munyankole okuva e Mbarara mu Western Uganda wabula ayimba mu Luganda.
Mu nnyimba, okulaga nti ddala mukyala ategeera ensonga z’omukwano, alina ennyimba ez’enjawulo ez’omukwano.


Ezimu ku nnyimba mwe muli Ngenda Kukuuma, No Body, Okambumba n’ennyimba endala.
Agamba nti wadde mukyala muyimbi, mu biseera bye eby’eddembe ayagala nnyo ebikonde, okulaba n’okusamba akapiira ate ayagala nnyo abantu.

Shadiah Kazoora wadde mukyala alabika bulungi, talina musajja amanyikiddwa mu lwatu. Agamba mu kiseera kino alina kutumbula talenti n’okuvuganya obulungi mu kisaawe ky’okuyimba.
Abamu ku ba DJ abagamba nti Kazoora mukyala ayimba bulungi ye, Dj Nimrod.

Dj Nimrod agamba Kazoora wadde muwala muto, kati y’omu ku bayimbi abalina ennyimba eziriko.

Ezimu ku nnyimba ze!

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IMaiNCl3hws