Munnakatemba Charles Kakooza amanyikiddwa nga MC Mariach, ayolekedde okuvundira mu kkomera olw’emisango emikambwe egimuguddwako.
MC Mariach yakwatiddwa era aguddwako emisango egyenjawulo omuli okulemesa abasirikale okutambuza emirimu gyabwe, okukuba n’okulumya omusirikale, okuvugisa emmotoka ekimama, okuvuga ng’atamidde n’emisango emirala.
MC Mariach eyeeyita Kabaka w’okwasama yakwatiddwa ku wikendi era mu kiseera kino akyali mu kaddukulu ka poliisi ku CPS mu Kampala.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku CPS mu Kampala enkya ya leero, agambye nti tewali muntu yenna akirizibwa kutwalira amateeka mu ngalo wadde serebu era essaawa yonna MC Mariach bamutwala mu kkooti.
Emisango egivunanibwa MC Mariach giviriddeko abamu ku bawagizi be okukaaba amaziga.