Omubaka w’e Ntenjeru North mu disitulikiti y’e Kayunga era Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi, akulukuse amaziga mu kkooti ssaako n’abamu ku bafamire ye.

Minisita Lugoloobi akaabye okutuusa okutobya akatambala ke era mu kaguli ka kkooti, alabiddwako ng’asaba abantu be, okumuwa akatambala akalala.

Mu kkooti ebadde ekubyeko aba famire ne mikwano gye, Minisita Lugoloobi abadde alina ‘kanula’ ku mukono, yeegatiddwako aba famire ye, okulukusa amaziga.

Ku myaka 61, abadde mu maaso g’omulamuzi Albert Asiimwe, owa kkooti ewozeza abalyake n’abakenuzi e Kololo mu Kampala.

Wadde akulukusiza amaziga okumala essaawa eziwerako, omulamuzi amusomedde emisango 2 omuli okusangibwa n’amabaati amabbe 400 nga yagiza wakati wa 14 – 28, Febwali, 2023 wabula emisango gyonna agyegaanye.

Mu kkooti, oludda oluwaabi lukulembeddwamu Samunyu David ne Muwaganya Jonathan ate Minisita Lugoloobi aleese bannamateeka omuli John Isabirye ne Tonny Tumukunde.

Minisita Lugoloobi asabye okweyimirirwa era bannamateeka be baleese ekyapa okuli amakaage ku kyalo Lukuli, Makindye n’okuleeta abantu musanvu (7) okweyimirirwa.

Bano kuliko

Omubaka omukyala ow’e Namutumba Naigaga Mariam.

Omubaka mu Palamenti ya East Africa James Kakooza

Omubaka w’e Kiboga East Dr. Kefa Kiwanuka

Eyaliko Ambasadda wa Uganda mu ggwanga lya Brazil Paul Mugambwa Ssempa

Omusuubuzi ate nga mukwano gwa Minisita Lugoloobi Martin Ssekajja

Katikkiro mu bwa Kyabazinga Joseph Muvawala ne

Ssentebe wa NRM e Kayunga Kaliisa Kalangwa Moses.

Mu ngeri y’emu baleese ebbaluwa eziraga nti ne Minisita Lugoloobi naye mulwadde wa mutima nga bwe gwali ku Minisita we Karamoja Mary Goretti Kitutu.

Endwadde endala eza Minisita kuliko Asima, omugejjo era baleese ebbaluwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ne Aghakan mu ggwanga erya Kenya, eziraga obulwadde bwa Minisita era nti Minisita atambulira ku ddagala.

Oludda oluwaabi mu kusooka luwakanyiza eky’okuyimbula Minisita Lugoloobi kuba ali mu Gavumenti ng’ayinza okutaataganya okunoonyereza.

Mungeri y’emu, basabye kkooti ennaku, okwekeneenya ebiwandiiko ebireeteddwa, oba ddala Minisita Lugoloobi agwanidde okweyimirirwa.

Bwatyo, Minisita Lugoloobi asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa ku Lwokuna nga 20, April, 2023, omulamuzi lwasuubira okuwa ensala ye.

Wabula oluvudde mu kkooti,  aba famire n’emikwano gya Minisita Lugoloobi n’okusingira ddala okuva mu disitulikiti y’e Kayunga, bagamba nti Minisita waabwe tagwanidde kusibwa kuba ebintu bingi nnyo byakoledde Gavumenti ya NRM.

Basabye Pulezidenti Yoweri Museveni okuyingira mu nsonga za Minisita Lugoloobi okusinga okumuswaza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RF3Ry5zipGc