Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ayingidde mu nsonga z’okuttibwa kwa Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxess oba Jajja Ichuli.
Olaxess agenda kuziikibwa ku kyalo Katwe e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Mukono akawungeezi ka leero.
Yattiddwa ekiro ky’olunnaku olw’eggulo okumpi n’amakaage ku kyalo Kyanja mu Kampala.
Oluvanyuma lwa Olaxess okuttibwa, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byasuubiza okunoonyereza, okutuusa nga bazudde omutemu.
Wabula sipiika wa Palamenti Among naye avuddeyo ku nsonga z’okutta Olaxess.
Sipiika Among avumiridde eky’okutta abantu era agamba nti ebikolwa webityo tebirina kifo kyonna wano mu Uganda.
Wakati mu kunoonyereza, sipiika Among awanjagidde ekitongole ekya Poliisi okuzuula abatemu, batwalibwe mu kkooti.
Mu bigambo bya sipiika ku mukutu ogwa Twitter, agambye nti, “I condemn in the strongest terms the barbaric act of taking human life in cold blood. Such actions have no place in our Nation and must not be tolerated. I call upon the police to ensure the culprits are brought to book. Inna Lillahi wa inna ilayhi raji’un. May Allah forgive you all your shortcomings and grant you Jannah. My sincere condolences to his family, friends and the Uganda bloggers Association in this trying moment”.
Mu wiiki eno, ne Charles Okello Macodwogo Engola abadde Minisita omubeezi ku nsonga z’abakozi naye yattiddwa nga yakubiddwa amasasi mu makaage ku Lwokubiri nga 12, May, 2023 e Kyanja mu Kampala.
Engola yattiddwa abadde omukuumi we Private Wilson Sabiiti kyokka naye oluvanyuma yesse.
Engola agenda kuziikibwa ku Lwomukaaga nga 13, May, 2023 mu disitulikiti y’e Oyam.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=1s