Entekateeka zonna ziwedde, ku Ssande nga 25, June, 2023, DJ Nimrod okulaga nti ddala asajjakudde mu kisaawe ky’okusanyusa abantu.
Nimrod azzeemu okutekateeka ekivvulu kya White Fiesta Party nga ku mulundi guno ekivvulu kitwaliddwa ku Climax Makindye.
Ekivvulu kino, omuntu yenna okuyingira, alina okwambala engoye enjeru nga y’emu ku nsonga lwaki kituumiddwa White Fiesta Party.
Ku mulundi guno, DJ Nimrod awerekeddwako abayimbi ab’enjawulo omuli Gravity Omutujju, Ziza Bafana, Spice Diana, Geosteady, Roden Y Kabako, Ray G, Crystal Panda, Martha Mukisa ne Victor Ruz.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2023/06/NIMMMM.jpg)
Nimrod agamba nti okulaga nti alina okusanyusa abantu be, asabye ssente ntono ddala 20,000, VIP 50,000 ate okufuna emmeeza 50,000.
White Fiesta Party ewagiddwa kampuni ez’enjawulo omuli 100.2 Galaxy FM, Galaxy TV, Kagwirawo, Kadanke n’endala.
Nimrod agamba nti ku mulundi guno kigenda kuba kyanjawulo nnyo era asuubiza okuwa abawagizi be, ekipya.
Guno mulundi gwa musanvu (7) nga Dr Nimrod atekateeka White Party mu bifo eby’enjawulo nga n’omwaka oguwedde ogwa 2022, yali mu kibuga Dubai.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Cv5ZjkBooyA