Poliisi y’e Luweero ekutte Malaaya ku misango gy’okutta kasitoma we olwa ssente.

Grace Namanya, nga mutuuze mu katawuni k’e Nankulabye e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero yakwatiddwa.

Grace ali ku misango gy’okutta Moses Bakka, myaka 45 omutuuze ku kyalo kye kimu nga yamusse mu kiro ku ssaawa nga 4.

Okunoonyereza kulaga nti Bakka yavudde awaka okugenda okusinda omukwano nga musawo alina shs 4,000.

Grace yasabye Bakka ssente 10,000 bw’aba ayagala kusinda mukwano nga tazirina.

Bakka yalemeddeko ng’asaba Grace amuweeko omukwano gwa shs 4,000, ekyavuddeko okulwanagana.

Grace yakutte akambe era yafumisa Bakka ku liiso ne mbiriizi,  kwe kuddusa okwewala ebiyinza okuddako.

Sam Twiineamazima, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah agamba nti Poliisi weyatuukidde mu nnyumba ya Grace okutaasa embeera nga Bakka amaze okufa.

Grace asangiddwa nga yeekwese mu katawuni k’e Kikyusa era akwatiddwa.

Twiineamazima agamba Grace aguddwako emisango gy’okutta omuntu era okunoonyereza kugenda mu maaso.

Eriab Ssemanda, ssentebe w’ekyalo agamba omugenzi alese abaana basatu (3).

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GBARrl6TQpk