Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II  akangudde ku ddoobozi ku nsonga enkulu ezigenda mu maaso mu ggwanga.

Ng’asinzira mu Lubiri e Mmengo ku Matikkira ag’emyaka 30, Kabaka asiimye

– Abantu abaakola kyonna ekisoboka, okuzaawo Obuganda omuli n’abo abafiirwa obulamu omuli Abalangira, Bannalinya, Abambejja, Abataka, Bannadiini, Abasuubuzi, Abasirikale n’abantu ababuligyo nga baakola ennyo okukuuma ennyoto okusigala mu Buganda nga kikyayaka.

– Abaakola kyonna ekisoboka okukola entekateeka z’okutuuza Kabaka ku Nnamulondo nga bagoberera obuwangwa n’ennono.

– Abantu abaakola mu kusooka okuwereza mu Buganda nga bakola mirimu gya bwannakyewa n’okulaga ekifaananyi nti ddala obwakabaka buzeewo.

– Asiiimye abantu bonna abazze bawaayo ebiseera byabwe ne ssente okuzaawo obwakabaka.

Kabaka era agamba nti newankubadde Obwakabaka bwaddawo naye tebwafuna buyinza, ekintu ekiwadde Obuganda essanyu.

Magulunnyondo agamba nti okukolera awamu y’emu ku nsonga lwaki eby’obulamu byongedde okulongooka, ebyenfuna n’ensonga endala naye nga Buganda yali yetaaga enkola ya Federo, okukola ku nsonga zaayo.

Chucuu mungeri y’emu asobodde okweyambisa amatikkira, okubotola ebyama ku nsonga ezimu.

Kabaka alagidde abantu be obutabongoota kubanga wadde obwakabaka bwaddawo waliwo abatabwagaliza bangi nnyo.

Mungeri y’emu alabudde abavubuka, okusigala mu byalo, okwewala okutunda ettaka era asuubiza okutwala obuweereza n’ebyalo byonna.

Empologoma era evuddemu omwasi ku nsonga y’abavubuka okutwalibwa ku mu nsi ez’enjawulo okukola emirimu n’okusingira ddala mu Saudi Arabia.

Agamba nti abantu abatwala abavubuka ku kyeyo, banoonya ssente kwekulakulanya ng’abantu wabula si kuyamba bavubuka.

Kabaka agamba nti abantu okwenoonyeza ebyabwe nga  beerimbise mu kuyamba abavubuka okunoonya emirimu, y’emu ku nsonga lwaki bangi bafiiriddeyo nga tewali ayinza kuyamba.

Eddoboozi lya Kabaka

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GBARrl6TQpk