Bazadde b’omwana agambibwa okuliibwa emmese mu ddwaaliro lye Kawempe basazeewo okwekubira enduulu mu bannamateeka, okuyambibwa okufuna obwenkanya n’okuzuula ekituufu ku butya emmese bwe zatauka okulya omwana waabwe.
Aba famire, bagamba nti okuweebwa omwana waabwe ng’aliko ekiwundu ku mutwe, ku bigambibwa nti emmese yamulya, betaaga bwenkanya nga betaaga okumanya emmese etuuka etya mu ddwaaliro lya Gavumenti.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2023/08/ddddd-1.png)
Kati no, aba famire nga bakulembeddwamu taata w’omwana Musoke Waswa Sula, balagidde bannamateeka baabwe aba Kavuma, Lubega Luzige and Advocates okuddukira mu kkooti, okufuna obwenkanya.
Bagamba nti betaaga okuzuula ekituufu ekyatta omwana waabwe nga kiswaza emmese okulya omuntu mu ddwaaliro lya Gavumenti nga ne ddwaaliro likyalemeddwa okuleeta alipoota ku nfa y’omwana waabwe.
Taata Musoke agamba nti omwana yazaalibwa nga yali abulako wiiki emu, nga y’emu ku nsonga lwaki yatwalibwa e Kawempe mu ddwaaliro, okuteekebwa mu kyuma.
Munnamateeka wa Famire, Joseph Luzige agamba nti bawandikidde Poliisi okufuna alipoota ku nfa y’omwana nga bagiwadde ennaku 2 zokka.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2023/08/kekeke.png)
Munnamateeka agamba emmese okutuuka mu ddwaaliro, kabonero kabulagajjavu nga balina okutaasa abazadde abalala abalina abaana mu ddwaaliro kuba ziyinza n’okulya abasawo n’abalwadde.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirilwano Patrick Onyango ategeezezza nga alipoota weyavuddeyo ku mwana ono era nga kyakakasiddwa nti emmese zezaaluma omwana byatyo, kwe kuwa famire amagezi okuddukira ku Poliisi y’e Kawempe, okuweebwa alipoota ku nfa y’omwana waabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OO9iWXyqvj4