Amaggye mu ggwanga lya Gabon galangiridde nti gawambye obuyinza.

Nga basinzira ku ttiivi y’eggwanga, balangiridde nti obuwanguzi bwa Pulezidenti Ali Bongo mu kulonda ku Lwomukaaga busaziddwaamu.

Okusinzira ku byalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda, Ali Bongo yafunye obululu, ebitundu 49.80 ku 100 ate Jean Ping yakutte kyakubiri nga yafunye obululu 48.23 ku 100.

Pulezidenti Ali Bongo

Bongo myaka 64 yawangudde okulonda n’enjawulo ya bululu 5,594.

Yafunye obululu 177,722 ate Ping yafunye obululu 172,128 ng’abalonzi, baabadde 59.46 ku 100 ng’obululu 356,890 bwafudde.

Okulangirira kwayongezeddwaayo okuva ku Lwokubiri okudda ku Lwokusatu oluvanyuma lwa Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Pachomius Moubelet-Boubeya lwe yasisinkanye akakiiko k’ebyokulonda.

Jean Ping – Alemeddeko nti yawangudde obuyinza

Wabula Jean Ping ng’asinzira mu kibuga Libreville ku Ssande, yalangiridde nti yawangudde okulonda wabula Pulezidenti Ali Bongo asobodde okweyambisa olukujjukujju okukyusa obuwanguzi bwe.

Mu Gabon, Pulezidenti singa alondebwa, aba alina ekisanja kya myaka 7.

Wabula amaggye gasobodde okweyambisa ttiivi y’eggwanga Gabon 24 okulangirira nti gawambye obuyinza, obuwanguzi bwa Bongo busaziddwaamu, ensalo zonna zigaddwa, ebitongole bya Gavumenti byonna bigiddwawo mbu kikoleddwa okukuuma emirembe mu ggwanga.

Amaggye ku ttiivi Gabon 24

Bongo wadde yasobodde okuwangula abantu 14, amaggye gamuwambye.

Bongo okugibwa mu ntebe, kabonero akalaga nti abantu bakooye obukulembeze bwa famire obw’emyaka 56. Yakwata obuyinza mu 2009 oluvanyuma lwa kitaawe Omar Bongo okufa mu 2009. Omar yali yakwata obuyinza okulembera Gabon mu 1967.

Bannansi bagamba nti mu kulonda, Gavumenti yagobye bantu bonna abayinza okulondoola okulonda, emikutu gy’amawulire okuva ebweru w’eggwanga omuli France 24 baagobeddwa, Yintanenti yagiddwako, okusindika abantu mu kafwu ekiro oluvanyuma lw’okulonda, byonna biraga nti okulonda mwabaddemu obuzibu.

Mu Africa, amaggye okuwamba obuyinza kweyongedde nga kiri mu nsi ez’enjawulo omuli Mali, Niger, Burkina Faso kati ne Gabon.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=KqQ13jn8ics