Omuyimbi Bebe Cool y’omu ku bantu abasanyufu olw’engeri Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) gye yakwatiddwamu.
Olunnaku olwaleero, Bobi Wine yakomyewo mu Uganda okuva mu nsi ez’ebweru.
Yabadde mu nsi omuli Canada, South Africa n’ensi endala ng’ali mu kampeyini y’okunoonya obuwagizi, 2026 okuddamu okuvuganya Yoweri Kaguta Museveni owa National Resistance Movement (NRM) ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.
Bobi Wine bwe yatuuse ku kisaawe Entebbe mu nnyonyi ya Rwanda Air flight, yakwatiddwa abakuuma ddembe era yatwaliddwa butereevu mu makaage e Magere, Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage, yagambye nti wadde ali mu Uganda, ebiwandiiko bye biraga nti akyali bweru wa ggwanga kuba tebannaba kusaamu sitampu.
Ng’asinzira ku mukutu ogwa Twitter, Bobi yagambye nti “Can you imagine that I am at home but I am not officially in Uganda because i was grabbed from the tamarc without going through immigration?
Wadde avuddeyo okulaga nti ali mu Uganda mu bukyamu, muyimbi munne Moses Ssali akamyikiddwa nga Bebe Cool, agambye nti naye tamanyi lwaki aseka, “oba why am i laughting?”.
Bebe Cool okuvaayo, kabonero akalaga nti empalana wakati wa Bobi ne Bebe ekyaliwo nnyo.
Bebe
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=A8J0pNlsmrU