Omuyimbi Diamond Platnumz avuddeyo lwaki yatwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera.
Diamond Platnumz y’omu ku bayimbi abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba n’okusingira ddala mu East Africa.
Wadde munnansi w’eggwanga erya Tanzania, akola bulungi nnyo mu East Africa n’okusingira ddala mu nsi omuli Kenya, Rwanda, Uganda n’endala.
Ku Lwomukaaga nga 14, October, 2023, Platnumz yatwaliddwa mu ddwaaliro mu kibuga Arusha, Tanzania nga yenna agonze.


Ng’omuntu omulala yenna, Platnumz asobodde okweyambisa emikutu gye omuli Instagram, okutegeeza abawagizi be nti yabadde afunye omusujja.
Agamba nti mu ddwaaliro, asobodde okufuna obujanjabi era kati tali mu mbeera mbi nnyo.
Ku Instagram, Platnumz agambye nti, “The day started badly in Arusha with fever that led hospitalization. I thank God I am doing well now. Do not stop praying for me. May I have strength to perform at the Wasafi Festivals“.
Platnumz alina ekivvulu mu ggwanga lya Kenya wiiki 2 okuva kati era bangi ku bannansi, balinze bulinzi lunnaku, baaguze tikiti z’ekivvulu.
Mungeri y’emu asuubirwa okuba n’ekivvulu mu ggwanga lya Rwanda mu kibuga Kigali ku Trace Awards nga 21, October, 2023 ku BK Arena.
Ezimu ku nnyimba ezifudde Platnumz omunene mu Africa kuliko Enjoy, My Baby, Waah, Yatapita, Jeje, Zuwena, Inama, Marry You, The One, Superstar n’endala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2ApolOnMtPQ