ADF ekubye Uganda awabi, 3 battiddwa mu bukambwe

Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye bitandiise okunoonyereza okuzuula abatujju abasse abalambuzi akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Abattiddwa kuliko abalambuzi okuli munnansi wa Bungereza, South Africa ne munnayugana eyabadde agenda okubalambuza.
Kigambibwa baakubiddwa amasasi oluvanyuma n’emmotoka yaabwe okuva mu Kkampuni ya Gorilla and Wildlife Safaris ne bagikumako omuliro.
Baabadde kumpi ne nnyanja Nyamununka ku luguudo lwe Kasese – Katwe mu Queen Elizabeth National Park.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti ebiriwo biraga nti obulumbaganyi bwakoleddwa abatujju bakabinja ka ADF.
Agamba nti mu kiseera kino, bakola kyonna ekisoboka okulaba nga abatujju bazuulibwa.
Ate Brig. Gen Felix Kulayigye, omwogezi w’ekitongole eky’amaggye, agamba nti obulumbaganyi bwakoleddwa ku ssaawa 12:40 akawungeezi k’eggulo.
Kulayigye asabye abantu okuyambagana okunoonya abakyamu nga bategeeza ku Poliisi oba amaggye singa ku kyalo kubaako omuntu yenna atamanyikiddwa ku kitundu n’okusingira ddala ebyalo ebiri okumpi n’ensalo n’eggwanga lya Democratic Republic of the Congo (DRC).
Wadde abatujju ba ADF baludde nga batta abantu mu ggwanga, Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni agamba nti boongedde okunafuwa era abasigaddeyo singa bagaana okuwanika, tewali mutujju yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bFZoOLbupRc