Omubaka wa Makindye East mu Palamenti Derrick Nyeko ayongedde okulaga nti y’omu ku bantu abasanyufu mu kiseera kino.
Mu Janwali, 2023, Nyeko omuganzi we Ruth Kirabo yamutwala namwanjula mu bazadde e Bombo mu disitulikiti y’e Luweero.
Taata wa Nyeko, Paineto Ofumbi musajja mu Japadhola okuva mu bitundu bye Tororo ate nnyina Florence Kampano, mukyala Mufumbira okuva mu disitulikiti y’e Kisoro.


Ate taata wa Kirabo kati omugenzi John Twagira, yali musajja Munyarwanda ate nnyina nga naye mugenzi, yali mukyala Muganda.
Wabula Nyeko okulaga nti ddala musajja tazanyira mu nsonga z’omu kisenge, mu bbanga ttono asobodde okuwa omukyala olubuto.
Ng’omusajja omulala yenna, asobodde okulaga essanyu lye era asobodde okutwala omukyala eri mukamaawe Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).


Nyeko alaze Bobi Wine essanyu ly’omutwe ne ‘struggle’ y’omu kisenge.
Essaawa yonna, omukyala agenda kumuzaalira omwana.
Omubaka Nyeko yadda mu bigere bya Ibrahim Kasozi owa FDC ng’omubaka wa Makindye East.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NSigVbSqiGg