Ekitongole ki FUFA kirangiridde omukyala munnansi wa South Africa, Sheryl Botes ng’omutendesi wa ttiimu y’abakyala mu Uganda eya ‘the Crested Cranes’.

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo yakulembeddemu okulangirira ku kitebe kya FUFA e Mmengo ekya FUFA Complex.

Omukyala Botes aweereddwa endagaano ya myaka 3.

Magogo agamba nti yafuna abantu 28 nga betaaga omulimu nga kuliko bannayuganda 5 nga kuliko omukyala omu.

Agamba omukyala Botes ategeera bulungi omupiira gw’abakyala nga yaliko omutendesi wa  SAFA Girls Soccer Academy mu kibuga Pretoria okumala emyaka 16.

Yaliko omutendesi wa ttiimu y’abakyala eya South Africa, era alina CAF A license, SAFA Pro era akola nga CAF Instructor.

Oluvanyuma lwa FUFA, okulangirira nti betaaga omutendesi mu March, She Cranes ebadde erina abatendesi ab’ekiseera 2 okuli Ayubu Khalifa ne Charles Ayieko.

Basobodde okutendeke emipiira egy’enjawulo mu September ne November, wabula balemeddwa okuyamba Crested Cranes okweyongerayo.

Khalifa yalondebwa okuyamba Crested Cranes okugenda mu Africa Cup of Nations nga yakubwa Algeria, oluvanyuma FUFA kwe kulonda Ayieko okuyamba ttiimu y’emu okugenda mu Olympic era naye yakubiddwa Cameroon.

Omutendesi azze n’abantu abalala 2 okuva e South Africa okuli David Didiero, omutendesi wa bakwasi ba ggoolo ne Ashley Bear, omukugu mu by’omupiira nga kuliko ne bannayuganda abalala, abagenda okuweebwa emirimu.

Abatendesi abazze batendeka the Crested Cranes kuliko Magida Nantanda, Faridah Bulega, George Lutalo, Ayub Khalifa Kiyingi ne Charles Ayieokh.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2ApolOnMtPQ