Omusajja myaka ali myaka 30 akiguddeko bw’akwatiddwa ng’ali ne muk’omusajja mu kisenge kya Ssemaka.
Omusiguze ategerekeseeko erya Mike nga musajja avuga bodaboda mu bitundu bye Kkonge Makindye mu Kampala.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Ssemaka Taata Kenny yakubidde Mike essimu okugenda ku Kampala okusobola okutwala awaka emmere.
Bwe yatuuse mu Kampala mu katale k’e Nakasero, Taata Kenny yawadde Mike, enkota y’ettooke n’enva okuzitwala awaka.
Taata Kenny agamba nti abadde afuna amawulire nti Mike ayagala mukyala we era y’emu ku nsonga lwaki yamukubidde essimu, okusobola okumulondoola.
Bwe yawadde Mike ebintu, taata Kenny yasobodde naye okufuna Pikipiki endala, mu ngeri y’okulondoola okufuna ekituufu oba ddala mukyala we ali mu laavu n’omusajja omulala.
Mike yatuuse awaka ku ssaawa nga 9 ez’akawungeezi.
Ku ssaawa nga 10 ez’akawungeezi, Taata Kenny naye yatuuse awaka kyokka okutuuka awaka nga mukyala we ali mu kaboozi ne Mike mu kisenge ate ku kitanda kye.
Omukyala yasobodde okweyambisa omukisa ng’abaana bali mu kuzannya, okudda mu kusinda omukwano.
Okutuuka mu kisenge, taata Kenny yafunye obuzibu era amangu ddala yakubiddwa puleesa kwe kumuddusa mu ddwaaliro okusobola okutaasa obulamu.
Ng’omusajja omulala yenna, Mike yasobodde okulinnya Pikipiki okudduka okwewala ebiyinza okuddako.
Wadde omusajja akyali mu ddwaaliro, omukyala maama Kenny asobedwa, kati sigino ziraga nti obufumbo buyinza okuba buweddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=r1SPEwibCcA