Kyaddaki Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) abotodde ekyama NUP yakoze enkyukakyuka mu bukulembeze mu Palamenti.
Ku Lwokutaano nga 22, December, 2023, NUP yalonze omubaka we Nakawa West Joel Ssenyonyi okudda mu bigere bya Mathias Mpuuga, ng’omukulembeze w’oludda oluvuganya.
Mpuuga, abadde mu kifo ekyo, okuva mu May, 2021, ekisanja kye kyaweddeko nga 15, December, 2023.

Mathius Mpuuga


Mpuuga yasindikiddwa okudda mu bigere bya Francis Zaake, omubaka wa Monisipaali y’e Mityana, nga Kamisona wa Palamenti.
John Baptist Nambeshe, yasigaddewo nga Nampala w’oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga.
Zaake abadde Kaminsona, aweereddwa eky’okumyuka Nambeshe nga Nampala w’oludda oluvuganya.
Mu kiseera nga bangi ku bannansi bakyebuuza lwaki Bobi Wine yagobye Mpuuga, avuddeyo okwewozaako.
Bangi ku bannayuganda bagamba nti Mpuuga abadde akoze bulungi nnyo era Bobi Wine abadde akyamwetaaga.
Wabula Bobi Wine agamba nti Mpuuga akoze bulungi nnyo mu kulungamya abakulembeze mu kibiina.
Mungeri y’emu agamba nti Mpuuga tagobeddwa wabula nga NUP ekkiririza mu nkyukakyuka era y’emu ku nsonga lwaki yakoleddwa.
Bobi Wine era agamba nti eyali omukulembeze we South Africa Nelson Mandela yalaga dda ensi nti omukulembeze mu kiseera ng’ali ku ntiiko, akola bulungi nnyo, alina okuwa omukisa abakulembeze abato n’abo okuvaayo.
Ng’asinzira ku kitebe kyabwe e Kavule Makerere, Bobi alemeddeko nti Mpuuga tabadde malayika, naye abadde alina ebirumira.

Eddoboozi lya Bobi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hpFAMTe8RLU