Poliisi mu ggwanga erya Kenya ekutte abantu 2 ku by’okutta munnayuganda omuddusi w’emisinde Benjamin Kiplangat.

Kiplangat abadde muddusi w’embiro za mmita 3000 ez’okubuuka obusenge nga bw’ogwa mu mazzi eza Steeplechase nga yattiddwa ku Lwomukaaga nga 30, December, 2023 mu kibuga Eldoret mu ggwanga lya Kenya.

Okusinzira ku Dominic Otuchet, Pulezidenti wa Uganda Athletics Federation (UAF), Kiplangant yattiddwa ku ssaawa nga 3 ez’ekiro nga yalumbiddwa ababbi abatamanyiddwa bwe yabadde yakava mu bbanka okugyayo ssente.

Otuchet agamba nti omugenzi Kiplangat yabadde agenda mu maka ga muganda we mu bitundu bye Iten mu kibuga Eldoret.

Ababbi baamulumbye mu mmotoka ne bamufumita ebiso mu kifuba ne batwala ssente zonna era omulambo gwasangiddwa mu mmotoka mu ntebe ya ddereeva.

Wabula wakati mu kunoonyereza, Poliisi mu ggwanga lya Kenya egamba nti erina abantu 2 abagambibwa nti balina akakwate ku ttemu eryakoleddwa.

Kiplangat abadde omu ku bannayuganda abakola obulungi mu misinde era kigambibwa abadde atera okugenda mu ggwanga erya Kenya, okutendekebwa ne banne mu misinde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=c3lJXLPUuIg