Abaalumba Mubarak Munyangwa bakwattiddwa babitebye
Poliisi y’e Nsangi ekutte abantu 3 ku misango gy’obubbi n’ogezaako okutta abantu.
Abakwate kuliko Igga Meddy, Safari Allan ne Kwizera Mansur.
Bali ku misango gy’okubba n’okwagala okutta Musoke Collins, Ssebufu Kenneth, Namutebi Winnie, Kalanzi Juma, Emuroni Michael ne Male Shaffic, omwezi oguwedde nga 29, December, 2023.
Abakwate era bateeberezebwa, okwenyigira mu kulumba amaka g’eyali omubaka wa Kawempe South, Mubarak Munyangwa, ku kyalo Kimbeja cell , e Budo mu Tawuni Kanso y’e Kyengra ne batematema asikaali Benjamin Mpaka nga 3, January, 2024.
Abakwate bano, mu kulumba abantu abo, batwala ebintu eby’enjawulo omuli TV, ssente obukadde obusukka 2, amassimu agasukka 10 n’okuleka nga bonoonye emmotoka ennamba Mv Mark X – UBB 043A.
Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti abakwate omuli Igga Meddy, Safari Allan ne Kwizera Mansur baguddwako emisango gy’okubbisa eryanyi n’okwagala okutta abatuuze era essaawa yonna batwalibwa mu kkooti.
Owoyesigyire agamba nti waliwo ababbi abakyaliira ku nsiko wabula agamba nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bonna bakwatibwa, okusobola okutaasa abatuuze ku babbi n’okutereeza ekitundu.
Ku lwa Poliisi, awanjagidde abatuuze abalina amawulire, okutuukirira Poliisi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FzNLzoPMI04