Ekyana kikaabye olw’omukwano gwa Victor Ruz
Mu nsi y’omukwano, singa omuntu yenna afuna omuntu ategeera omukwano, ayinza okukola ebintu eby’enjawulo ebiraga nti ddala ali mu ssanyu.
Omuntu ng’ali mu ssanyu, ayinza okukola ebintu eby’enjawulo era abamu bakaaba, okulaga nti atuuse ku kintu kyabadde tasuubira.
Ku Lwokusatu nga 14, Febwali, 2024, omuyimbi Victor Ruz yabadde alina Konsati ku Kingdom Kampala.
Mu konsati, yasobodde okuyimba ennyimba ez’enjawulo omuli Official, Byanzigwako, Ndeese Love, Ogeza, Riniah, Wansala, Tatto kyokka oluyimba Webale, lwafuuse ensonga.
Oluyimba Webale, lwa mukwano era lugamba nti
“Nkukubila kati tokya pickinga
Mpulira mbu kati wada Mbarara
Nebigambo mbiwulira, mbu wafunayo omulala
Kansabe ogume nooyo, nneme kulwaana nakukwelabira
Okuva lwewafuluma omulyango, wandeka mbunye biso mumugongo
Mukugenda tewayogera bigambo, negumya nga binsobedde mu kakuubo.
Webale, wammalira ebiseera
Webale, wandeka mukukaaba
Webale, mutima gwewatwaala
Wagukomyaawo mubi papaajo
Leka nekaze nga atalumiddwa maama
Kyatule nti kyali kyakubeera
Newale nabuli jenagenda
Tukyali mu mukwano jenakwanjula nga
Tararaaa tararaa tararaaa uhmmm
Aaaahh
Zi hey love, nzi sindika
No’zi bluetickinga
Nze eyali nga wo nga okowoola
Nnonya kyentunuulira okwaava obuzibu okundeka
Newenzibya omutwe nga ntakula
Ekyaali kitugatta nga abalongo
Gwaali mukwano baby ssi bigambo
Ebyaaliwo obisudde mukiwonko, bwofuda obiziike“.
Oluyimba olwo, lwavuddeyo bangi ku baana abawala okukaaba amaziga nga bajjukidde embeera y’omukwano mu lugendo lwabwe.
VIDIYO!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TyEeL1MAU5A&t=437s