Bwiino ku musajja eyalidde enyama ya waya azuuse

Abasuubuzi mu Kampala bawanjagidde Poliisi okunoonyereza ennyo, okuzuula ekituufu ku kiyabadde mu mmere ya kasitoma.

Ku wikendi yonna, waliwo akatambi akabadde katambula nga waliwo abasajja abali mu kwebuuza ekituufu ekiri mu mmere.

Balaga nti mu mmere mulimu ekintu ekyefaananyiriza obusajja bw’omuntu nga bwateekeddwa mu mmere eyabadde efumbiddwa obulungi nnyo.

Kati no, Poliisi egamba nti ku Lwokuna nga 28, March, 2024, omusajja Bwemage Ronald yagenze okulya emmere mu Lukuubo lwa E-Tower ku Buganda Road, mu Kampala.

Yasabye emmere omuli Matooke, omuceere, ennyama y’ente ng’emmere yamuweereddwa Namugerwa Mariam, nnanyini kifo.

Wakati mu kulya, yazudde akantu akalinga obusajja bw’omuntu, okubuuza Namugerwa nga tanyega.

Omusajja Bwemage, yakutte essowani y’emmere nagitwala ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS okufuna okwanukulwa.

Polisi egamba mu kiseera kino ekutte Namugerwa ne Nakawojja Josephine, okuyambako mu kunoonyereza.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala agamba nti mu kunoonyereza, balina okuzuula oba kitundu kya muntu oba nedda.

Bwe kiba kitundu kya muntu, balina ate okunoonyereza okuzuula omulambo gw’omuntu, ekitundu kwe kyavudde.

Ate abasuubuzi bagamba nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu kuba muyinza okuba nga mulimu empalana n’obutagaaliza.

Abasuubuzi bagamba nti bafunye amawulire nti omusajja Bwemage ayinza okuba yazze n’ekitundu ky’omuntu, okwagala okutaataganya emirimu gy’omukyala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=WP-x9T57kLU