Poliisi ekyanoonya okutuusa ng’ezudde abantu bonna, abenyigira mu ttemu, ery’ okusaddaaka abaana abato 2 mu disitulikiti y’e Kiboga.
Poliisi, yasobodde okuzuula omusawo w’ekinnansi Sulaiman Ssentongo myaka 32, nga yekwese e Kireka mu Monisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ssentongo ali ku misango gy’okutta abaana Sylvia Nantongo myaka 5 ne Esther Nakasumba myaka 2 ku kyalo Kasega mu ggombolola y’e Kapeke e Kiboga.
Abaana bazuuliddwa nga batemeddwako emitwe wiiki ewedde ku Lwokuna era mu kuleeta embwa ezikonga olussu, zatambudde okutuuka ku ssabo lya Ssentongo.
Mu kunoonyereza, kwekuzuula nti Ssentongo, yabadde amazze okudduka nga yasobodde okuyambibwako omukyala Maureen Namuleme myaka 41, eyamuwadde ssente z’entambula.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Racheal Kawala, Ssentongo nga mutuuze ku kyalo Kirinda mu ggoombolola y’e Kapeke n’omukyala Namuleme bali ku Poliisi y’e Kiboga ku misango gy’obutemu.
Poliisi ekyanoonyereza okuzuula engeri abaana gye baava awaka ku ssaawa 4 ez’ekiro wiiki ewedde ku Lwokusatu kuba kiteeberezebwa waliwo abaali mu kikolwa ekyo, eky’okutambuza abaana, okutwalibwa okuttibwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6Zb5n0RqEYY