Olina okuleeta akapale k’omunda okakasa oba ddala omusajja yagikwatako
Kkooti ya Buganda Road ng’ekubirizibwa omulamuzi Ronald Kayizzi eragidde omuwala Sheila Akampwera, agambibwa nti baali bagezaako okumusobyako okuleeta
– Akapale k’omunda
– Kabulawuzi keyali ayambadde
– Empale empavu gye yalimu.
Omusajja Kivumbi Benon myaka 31, nga ddereeva wa mmotoka ate mutuuze we Bukoto Nsimbi ziwoome, mu Nakawa, yasimbiddwa mu kkooti olwaleero.
Kigambibwa nga 8, April, 2024 mu bbaala ya ‘The Villa e Bukoto’, Kivumbi yali agezaako okusobya ku muwala Akampwera.
Mu kkooti, omuwala agamba nti yali atamidde, mikwano gye kwe kumutwala mu mmotoka awumule era ne basaba Kivumbi asigale ng’akuuma mukwano gwabwe.
Kigambibwa Kivumbi, yasalawo okweyambisa omukisa ogwo, okwagala okumusobyako.
Omuwala agamba nti yali talina maanyi kwerwanako, agenda okuba ng’ategeera, ng’empale yonna eyulise nga kabulawuzi konna kajjudde omusaayi.
Akampwera agamba nti ekyamutaasa, yali mu nsonga za kikyala ate waliwo emmotoka eyasaako amataala, Kivumbi kwekudduka.
Wadde byogeddwa, Kivumbi abyegaanye era bwatyo omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 29, April, 2024.
Omulamuzi alagidde omuwala okuleeta ebimutumiddwa, mu kkooti ng’obujjulizi, okuyambako ku musango.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5LLRyANoIqk