Vidiyo y’omusajja agoya engano n’ebigere, eyongedde okutambula ku mikutu migatta abantu.
Vidiyo eraga nti omusajja asiika Amandaazi okunoonya ensimbi era alina obukodyo obwenjawulo mu ngeri y’okutambuza emirimu.
Wadde abantu bangi beenyumiriza mu kulya Amandaazi, vidiyo eyongedde okusajjula emitima gyabwe.
Omusajja alaga nti yabadde atuuyanye wakati mu kulinya engano n’ebigere.
Lwaki waliwo okutya!
Bangi balowooza nti omuntu yenna okweyambisa ebigere, kikolwa kya bukyafu era kiyinza okulemesa bangi ku bantu okulya.
Olw’ekikolwa ekyo, y’emu ku nsonga lwaki ne vidiyo eyongedde okutambula.
Yavudde mu nsi ki?
Wadde vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta abantu, tekimanyiddwa oba ddala omusuubuzi ali mu katambi ali mu Uganda oba nedda.
Waliwo abagamba nti vidiyo yavudde mu nsi ndala era waliwo abalowooza nti vidiyo nkadde.

VIDIYO

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YMrgtGMGiGc