Poliisi mu disitulikiti y’e Bushenyi etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko omuyizi wa Kampala International University (KIU) mu bitundu by’obugwanjuba bwa Uganda mu Monicipaali y’e Bushenyi-Ishaka okufiira mu Hositeero.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Bushenyi Marcial Tumusiime, omugenzi Isaac Otieno Ochola abadde mu myaka 33 era abadde munnansi wa Kenya.
Abadde asoma mansita mu by’eddagala era abadde asula mu Hannington Hostel e Bushenyi-Ishaka
Poliisi egamba nti omulambo gwa Otieno Ochola gwazuuliddwa ku Lwomukaaga oluvanyuma lw’abatuuze okuwulira ekivundu ekiva mu nnyumba.
Amangu ddala Poliisi yayitiddwa era okwekeneenya mu Hositeero nga Ochola z’embuyaga ezikunta.
Omulambo gwa Ochola gwasindikiddwa mu ggwanika lya Univasite okwekebejjebwa.
Omu ku batuuze Alex Tumusiime agamba nti Poliisi okutuuka mu nnyumba, kwe kuzuula eddagala ly’ebika eby’enjawulo era lyonna lyatwaliddwa.
Mungeri y’emu agamba nti Poliisi yazudde ebiwandiiko ebiraga nti omugenzi abadde mulwadde ng’aliko obuzibu ku mutwe wabula okunoonyereza kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kuXG6M4Sicg