Okunoga ssente, laba engeri talenti wekyusa obulamu bw’abantu
Mu kiseera nga bannayuganda bangi bakyanoonya emirimu, nate abakugu bagamba nti talenti y’emu ku ngeri ezisobola okuyambako mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Mu nsi yonna, abantu abalina talenti, bebamu kw’abo abakyasiinga okufuna ssente n’okulya obulamu.
Mu Africa, ensi nga Nigeria, zimanyikiddwa nnyo olwa Talenti omuli okuzannya Ebinayigeriya.
Abazannyi omuli Ramsey Nouah, Richard Mofe Damijo, Hanks Anuku, Osita Iheme, O. C. Ukeje, Uzee Usman, Timini Egbuson, Jide Kene Achufusi, Jim Iyke, Jimmie Akinsola, Olumide Oworu, Adewale Akinnuoye-Agbaje n’abalala, bagagga bavundu olwa talenti zaabwe.
Wano mu Uganda, abantu bangi bagagga olwa Talenti omuli okuyimba n’okuzannya Katemba.
Bannayuganda omuli Dianah Nabatanzi, Precious Remmie, Natasha Sinayobye, Hellen Lukoma, Eleanor Nabwiiso, Sarah Kisawuzi n’abalala bebamu ku bannayuganda abasobodde okunoga ssente mu Talenti.
Kati no olw’embeera y’okulwanyisa ebbula ly’emirimu aba Pearl Screen Pictures bavuddeyo okuyambako nga bayita mu kutumbula talenti.
Aba Pearl Screen Pictures, balangiridde Kampeyini y’okunoonya Talenti za Bannayuganda okuzannya emizannyo mu ggwanga lino.
Bano bagamba nti omuntu yenna ng’alina Talenti, aweereddwa omukisa okusindika ekifaananyi ku nnamba y’essimu okuli 0706-563533 oba 0777-057485.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gI3Nsq4lfjU&t=1s