Kyaddaki amaggye gavuddeyo ku musajja eyakubiddwa amasasi.

ku kyalo Kizimizo mu ggoombolola y’e Serinnya e Mityana, omutuuze yakubiddwa amasasi, ekyarese abatuuze nga bali mu ntiisa.

Ku Lwokubiri ekiro ku ssaawa nga 5, omusajja amanyikiddwa nga Musiramu yakubiddwa amasasi nga yasangiddwa mu kazigo mw’abadde asula.

Neyiba Derrick Senyonga, agamba nti abasirikale bazze nga bali mu Yunifoomu eza bulaaka era baakubye Musiraamu essasi ku mutwe.

Ssenyonga agamba nti Musiramu yabadde mu nnyumba kyokka bwe yagaanye okugulawo oluggi, omusirikale yasambye oluggi ne bayingira munda.

Mbu Musiramu yabadde agezaako okudduka, omu ku basirikale yamukubye essasi ku mutwe era yafiiriddewo.

Senyonga era agamba nti nga batuuse awaka, abasirikale baalagidde baneyiba bonna okuyingira mu nnyumba zaabwe era Musiramu amangu ddala ng’atiddwa, omulambo gwateekeddwa kabangali ne gutwalibwa.

Apollo Kironde, akulira ebyokwerinda ku kyalo agamba nti omugenzi abadde mukwano gw’abatuuze nga kizibu okutegeera ensonga lwaki yattiddwa.

Kigambibwa nti omugenzi abadde yakamala ku kyalo ebbanga lya myezi 3 era abadde alina ffaamu y’ennyanya.

George William Katuramu, Kansala we Serinnya mu ggoombolola y’e Maanyi, yasabye ebitongole byokwerinda okuvaayo mu bwangu, okunyonyola lwaki omuntu yattiddwa.

Amaggye gavuddeyo

Amaggye galaga nti mu Bbomu ezakubwa mu 2021 mu Kampala, Musa Kabanda amanyikiddwa nga Akman yakwatibwa.

Kyazuulibwa nti yali omu kw’abo, abaali bakulembeddemu okupanga, okutega bbomu mu Kampala.

Kabanda yategeeza nti yali akolagana ne Ddamulira Yasin amanyikiddwa nga Musuubuzi, Abas Sekimpi ali ku limanda mu kkomera ne Nsubuga Sulaiman eyakwatiddwa nga 27, April, 2024.

Amaggye galaga nti ku Lwokubiri nga 28, May, 2024, ab’ekitongole ekikessi, bazuula nti Ddamulira yali alina essimu gyakozesa ng’ali mu bitundu bye Mityana.

Mu kiro ekyo, ab’ekitongole ekirwanyisa obutujju ne Poliisi kwe kulumba omuzigo gwa Ddamulira Yasin.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’amaggye, Col Deo Akiiki, Ddamulira yabadde agezaako okukuba amasasi, era amangu ddala yakubiddwa essasi ku mutwe era yafiiriddewo.

Mu kwekebejja amakaage, kwe kuzuula emmundu ekika kya SMG – https://www.youtube.com/watch?v=RI0CZWAo2G8