Omubaka Omukyala owa Lwengo Cissy Namujju, Yusuf Mutembuli owa Bunyole East ne Paul Akamba owa Busiki bagguddwako omusango gw’okwenyigira mu bikolwa eby’obuli bw’enguzi bwe balabiseeko mu kkooti ewozesa abakenuzi mu Kampala era kati bali mu kkomera.

Okunoonyereza kulaga nti bano bagezaako okujja enjawulo ya bitundu 20% okuva ku Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu ka Uganda Human Rights Commission, Mariam Wangadya okusobola okuyisa ssente zeyali ayagala ziweebwe akakiiko kaakukembera mu mbaliririra y’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025, egenda okusomwa olwaleero.

Kigambibwa baali ku Hotel Africana mu Kampala nga 13, May, 2024.

Munnamateeka w’abasibe Asuman Basalirwa agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nti abasibe bafuna okweyimirirwa kuba omusango bagwegaanye.

Bonna 3, bali ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 14, June, 2024.

Omusango guno, oludda oluwaabi lukulembeddwamu Nicholas Kawooya ne Gertrude Apio.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=twNJ5ePBPGg&t=384s