Omukyala myaka 22 akwatiddwa n’abasajja 4 mu kikolwa ky’obubbi.

Poliisi y’e Kajjansi ekutte abantu 5 ku misango gy’okubba emmotoka.
Abakwate kuliko
1 – Matovu Kenny myaka 30, nga mutuuze we Aliwala, mu ggoombolola y’e Aluu mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo nga musajja dereeva.
2 – Gumisiriza lsmail myaka 35, nga mutuuze we Okawanda Namere, e Wakiso.
3 – Omukyala Musimenta Ruth amanyikiddwa nga Jovan myaka 22, mutuuze we Kireka mu disitulikiti y’e Wakiso
4 – Matovu Frank myaka 31, mutuuze we Katooke B e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
5 – Mwebeza Ivan myaka 40, nga mutuuze we Katooke A, e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Bano, baludde nga bapangisa emmotoka mu Uganda, nezitwalibwa okutundibwa mu ggwanga lya Congo n’ensi endala.
Bonna 5 benyigidde mu kubba emmotoka ya Saul Kiwuwa ekika kya Toyota Alphard nga njeru namba UBM 309G ne bagitwala mu ggwanga lya Congo.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti ddiru y’okubba emmotoka erimu abantu ab’enjawulo nga befuula abanoonya emmotoka ez’okupangisa.
Onyango agamba nti abakwate mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Nateete ku misango gy’obubbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jo0iXzZZx3A