Omupoliisi Gilbert Arinaitwe Bwana asindikiddwa mu kkooti enkulu ewozesa bakalintalo atandike okuwerennemba n’omusango gw’okukukusa omuntu gweyaggulwako mu August w’omwaka oguwedde.

Mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi ku Buganda Road mu Kampala, Arinaitwe Bwana ategeezeddwa, nti bakomekereza okunoonyereza era bwatyo, nasindikibwa mu kkooti enkulu.

Obujjulizi bulaga nti Arinaitwe, Mu Gwomukaaga, 2023, yasindikira omukyala (amannya gasirikiddwa) ssente emitwalo 4 egya tulansipooti, namulagira okuggya mu makaage e Nalumunye-Bandwe mu Tawuni Kanso y’e Kyengera.

Omukyala bwe yatuuka, Arinaitwe, yamutegeeza nti ye mukama we nga buli mwezi wakuweebwa emitwalo 7.

Wabula nga 24, June, 2023, Arinaitwe, yalabiriza mukyala we ng’atambudde okugenda ku mulimu era amangu ddala yakaka omukyala omukwano era okuva olwo, yali amusobyako wadde ali mu nsonga z’ekikyala.

Obujjulizi obwo, omulamuzi Kayizi kwasindidde, okusindika Arinaitwe, mu kkooti enkulu okwewozaako.

Arinaitwe Bwana alagiddwa okweyanjula mu kkooti buli Lwakuna olusemba mu mwezi kuba kkooti yamukkiriza dda okweyimirirwa.

Bwana lwe yakuba Besigye

Arinaitwe ajjukirwa nnyo mu 2011, bwe yakuba emmotoka ya Dr Kizza Besigye ne mmundu ye ku nkulungo y’e Mulago okwasa endabirwamu y’eddirisa, namukuba ttiiya gaasi mu maaso bwe yali mu kwekalakaasa kwa Walk to Work.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=x8cdtMx9dGU