Omusajja ali myaka 30 awonye emiggo gy’abatuuze, asangiddwa ne muk’omusajja nga bali mu kikolwa.
Embeera eno ebadde ku kyalo Kavule mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omusajja ategerekeseeko erya Kato ng’avuga bodaboda, yasangiddwa ng’ali mu kaboozi ne mukyala wa Lutaaya, ategerekeseeko erya Annet.
Kigambibwa Lutaaya abadde afuna amawulire nti mukyala we Annet ali mu laavu ne Kato era abadde yafuna abantu be, okulondoola ensonga.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Lutaaya yafunye essimu oluvanyuma lw’omu ku batuuze okulaba Kato ne Annet nga bayingira akazigo.
Ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi, Lutaaya yabadde atuuse mu kazigo ng’ali n’abatuuze era yakutte mukyala we Annet lubona ng’ali mu kaboozi n’omusiguze.
Kato yakubye oluggi era yasobodde okuyita omu ku batuuze mu nkwawa, okusobola okudduka.
Omukyala yasigadde mu kazigo nga bambi bimusobedde wakati mu batuuze okusakaanya.
Lutaaya wakati mu maziga, yagobye mukyala we nti ayinza okuleeta ebirwadde era omukyala yalekeddwa mu kazigo nga bimusobedde.
Wadde abadde alina omwana ne Annet, Lutaaya agamba nti omwana we awonye okusigala mu mikono gy’omuntu omwenzi.
Mu kiseera kino Kato aliira ku nsiko ate Lutaaya yasobodde okudda awaka ng’ali mu maziga olwa mukyala we okudda mu bwenzi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5RhF4Np-0yg