Joel Ssenyonyi atabukidde Poliisi ku lwa mukama we Bobi Wine
Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), basisinkanye obukulembeze bwa Poliisi okutema empenda ku ngeri y’okuddamu okutambula mu ggwanga lyonna nga tewali kutaataganyizibwa.
Mu nsisikano wali ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Poliisi esabye ebintu ebiwerako
– NUP obutakkiriza Pikipiki kubatambulirako nga bagenda mu ntambuza zaabwe
– Okugondera amateeka g’enguudo eri abantu bonna abalina ebiduuka
– Okendeza ku bungi bw’emmotoka.
Wabula aba NUP babigaanye era bagambye nti
– Eky’abantu okuggya mu bungi, tebayinza kukiremesa kuba abantu baddembe okubegatako.
– Basuubiza okusigala nga batambulira mu mateeka nga bwekibadde ebbanga lyonna.
Kati balangiridde okuddamu okuzoganya mu kuddamu okutambula eggwanga lyonna era ku Mmande, balangiridde nti bagenda Bundibugyo.
Wabula ne Poliisi esuubiza okwetereeza kuba mulimu abasirikale banaabwe, abava ku mulamwa.
Abakulembeze omuli Joel Ssenyonyi, akulira oludda oluvuganya ne David Lewis Rubongoya, Ssabawandiisi w’ekibiina ki NUP, bagamba nti nga NUP balina okusigala nga bali mateeka wabula ne Poliisi erina okuteeka mu nkola ebituukiddwako, okwewala okusika omuguwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=qyXyILzmH30