Joel Ssenyonyi abigaanye

Ab’oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga, balangiridde okuzira entuula za Palamenti zebali mu kutekateeka okutwalibwa, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Okusinzira ku ntekateeka mu

Northern Uganda – Gulu (wakati wa 28 ku 30, August, 2024)

Western Uganda – Mbarara

Eastern Uganda – Mbale

Buganda – Masaka

Wabula omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi ne banne, balangiridde nti bagenda kuzira entuula zonna.

Ssenyonyi, agamba nti bbo, nga abakulembeze, betaaga okutegeera ani yaleeta ekiteeso ekyo eky’okutwala Palamenti ebweru n’engeri munnayuganda gy’agenda okufunamu.

Ng’asinzira ku Palamenti y’eggwanga, Ssenyonyi agamba nti buli lutuula, bagenda kusasaanya biriyoni 5, nga mu ntuula 4, bagenda kusasaanya biriyoni 20,  mu kaseera nga bannayuganda bakaaba.

Mungeri y’emu agamba nti Palamenti bw’eba etudde

Wadde abatuuze bazze, Bakansala, Bassentebe ku disitulikiti, tebayinza kukirizibwa kuteesa kuba si babaka ba Palamenti.

Ng’abakulembeze ku ludda oluvuganya, balemeddeko nti bannayuganda betaaga buwereza omuli

Okulongoosa enguudo

Amalwaliro

Eby’enjigiriza

Okulwanyisa obuli bw’enguzi wabula si kutwala Palamenti mu kitundu kyabwe, okudda mu kwonoona ensimbi ate ng’ensonga ezibanyiga, bazitegeera bulungi nnyo.

Chris Obore – Omwogezi wa Palamenti, agamba nti Palamenti ya Uganda yonna wabula si Palamenti ya Kampala.

Agamba nti okugenda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, kyali mu ntegeka za Palamenti, okutwala Palamenti eri abantu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=q_9Vn_ygLo8