Kyaddaki Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) atabukidde Gavumenti olw’embeera ebaddewo, okugezaako okumulemesa okutikkirwa.


Bobi Wine y’omu ku bayizi, abagenda okutikirwa olunnaku olwaleero ku Cavendish University Uganda.


Agenda kufuna diguli mu by’amateeka.
Bobi Wine yatandika okusoma mu 2016 era oluvanyuma lw’emyaka 7, asobodde okufundikira emisomo gye.


Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa X, okulaga nti Gavumenti yabadde egezaako okumulemesa okutikirwa.
Agamba nti oluvanyuma lw’amawulire okufuluma nti y’omu ku bayizi abagenda okutikirwa, waliwo abakozi okuva mu Gavumenti abakoze kyonna ekisoboka okulemesa entekateeka zonna omuli n’okugenda mu kakiiko akavunaanyizibwa ku bisomesebwa ku Yunivasite aka National Council for Higher Education (NCHE).


Aba NCHE, bavuddeyo ne bagenda ku Yunivasite okusaba ebiwandiiko byonna ebikwata ku by’okusoma bwa Bobi Wine omuli

  • Ebbaluwa emukiriza okuyingira Yunivasite
  • Likodi eziraga nti abadde asoma
  • Empapula z’ebibuuzo zonna
  • Lisiiti eziraga nti abadde asasula fees n’ebirala.
    Bobi Wine agamba nti Yunivasite yasobodde okuwaayo ebintu byonna, oluvanyuma ne bakkiriza nti alina okutikirwa era agamba nti ayinza okuba munnayuganda asoose okuyisibwa mu mbeera bwetyo.

  • Ku mukutu ogwa X, Bobi agambye nti, “Recently when news came out that I was set to graduate, the usual detractors got busy and made every effort to stop me. Some people, ostensibly working for the regime and other detractors, went as far as petitioning the National Council for Higher Education. NCHE officials went to the University and demanded for every document regarding my studies, including my application form, admission forms, all class attendance records, written exams, coursework of all the years and my tuition payment records! It is after a very detailed and intense investigation that I was cleared to graduate today. I don’t know if any other Ugandan student has been subjected to this before“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=s8YV-vosUb8