Omulamuzi wa kkooti esookerwaako e Nakawa Christine Nantege asindise eyali amyuka akulira ettendekero ly’e Kyambogo Dr. Eron Lawrence mu kkooti enkulu okwewozaako ku misango gy’okusobya omwana ataneetuka ate nga aliko obulemu.

Okusindikibwa mu kkooti enkulu, kivudde ku ludda oluwaabi okutegeeza nti bafundikidde okunoonyereza.

Okusinziira ku bujulizi, nga 12, October, 2023, Dr. Eron, yali n’abayizi beyali awerekedde mu kibuga Nairobi mu ggwanga lya Kenya, nga buli muyizi amutwala okumpi, wayinza okufunira emmotoka okudda awaka.

Bwe yamala okutwala abaana abalala, mu motoka Dr. Eron yasigazaamu omuwala ono, myaka 16 nga muzibe era yamuwa amazzi nga kigambibwa amazzi mwalimu ebiragalaragala, ekyavaako omwana okuwunga era bwatyo namusobyako.

Dr. Eron, bwe yamala okusobya ku mwana, yamuwa akaweke, namulagira akamire, okumuyambako okufuna amaanyi kuba yali yalaga nti mugonvu nga n’ebintu by’ekyama, biraga nti bikozeseddwa.

Okwekebejja omwana, kyazuulibwa nti, yamusiiga obulwadde siriimu era kati kkooti enkulu, yeesigadde okuwulira emisango gye naye okwewozaako.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=pAlYIvnR34Q&t=14s