Kkooti mu ggwanga erya Tanzania mu kibuga Dodoma eriko abantu 4 abasibiddwa amayisa lwa kusobya ku mwana omuto ali wansi w’emyaka 18.
Abasibiddwa kuliko Clinton Damas, munnamaggye okuva mu Tanzania People’s Defence Force ne Praygod Mushi, omusirikale mu kitongole eky’amakkomera.
Abalala kuliko Nickson Jackson ne Amin Lema.
Wadde basibiddwa mayisa, omulamuzi abalagidde okuwa omwana eyasobezebwako ssente shs 1,000,000 ($370; £275).
Omuntu omulala, nga naye musirikale agambibwa nti yakulemberamu okulagira omwana okusobezebwako, agenda kutwalibwa mu kkooti nga yanjawulo mu October, 2024.
Oluvanyuma lw’omwana okusobezebwako, kyavako okwekalakaasa mu bitundu bye Tanzania eby’enjawulo.
Munnamateeka w’abasajja Godfrey Wasonga, agamba nti bagenda kujjulira mu kkooti kuba kityoboola eddembe ly’abantu be okusibwa amayisa.
Wabula bangi ku bannansi mu ggwanga erya Tanzania, bannabitone, bannabyabufuzi, abasuubuzi ssaako n’abantu abalala, basobodde okweyambisa emikutu egya Social Media, okusiima kkooti, okusiba abasajja abo, amayisa.

Bagamba kikyamu okusobya ku mwana omuto.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6E6M5-V4zn8