Omuvubuka, eyali omuli wa ssente w’omu Kampala, Don Nasser, aziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23, October, 2024.
Don Nasser myaka 38 nga mutuuze mu zzoni ya Kito mu disitulikiti y’e Wakiso, asimbiddwa mu kkooti n’omuwala we Ateete Promise myaka 19.
Mu kkooti, ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuwala myaka 16 ssaako n’okumukukusa.
Omuwala eyavaako obuzibu, yamugya ku Tagore apartments e Kamwokya, namutwala makaage mu zzooni ya Kito e Kira era yamusobyako okumala ennaku 4, okuva nga 23 okutuusa nga 27, May, 2024.
Wadde mu kkooti yegaanye emisango gyonna, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joseph Kyomuhendo lugamba nti lukyanoonyereza.
Don Nasser n’omuwala Promise baziddwa ku limanda, webasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi, wali ku Buganda Road mu Kampala enkya ya leero.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vEm-4MWes5M