Minisita w’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara avuddeyo ku nsonga z’omuyimbi Mikie Wine okuteeka omwana omuto mu vidiyo y’omukwano.
Mikie Wine yasobodde okufulumya oluyimba “Kankutekemu” nga lwa mukwano nga mulimu omuwala Pretty Nicole.
Mu kiseera kino vidiyo eyongedde okutambula ennyo ku mikutu omuli U-tube, WhatsApp, TikTok n’endala.
Wabula Minisita Balaam agamba nti mu Uganda, kimenya amateeka okukozesa omwana omuto.
Minisita Balaam agamba nti Pretty Nicole alina emyaka 16 nga kiswaza omuyimbi Mikie Wine okumuteeka mu vidiyo.
Balaam agamba nti ensonga zikwasiddwa abakulu ab’enjawulo okunoonyereza ku nsonga za Mikie.
Uganda, ebikolwa by’okukwata abantu ku misango gy’okukozesa emirimu abaana abato bikyali bitono.
Kigambibwa, ebikolwa by’okukozesa abaana abato, bisinga kuba mu bitundu bye Eastern Uganda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZGc6nmuVSL4