Abantu 147 bebaakafa mu mambuka ga Nigeria oluvanyuma lw’ekimotoka ky’amafuta okukwata omuliro.
Kigambibwa ekimotoka kyafunye akabenje kyokka abatuuze bazze mu bungi okwagala okutwala amafuta ag’obwereere.


Mu kiseera nga basena amafuta, ate ekimotoka kyakutte omuliro.
Mu kiseera kino, abantu abasukka mu 100 bali mu ddwaaliro mu katawuni k’e Ringim mu ssaza lye Jigawa era bangi bali mu mbeera mbi nnyo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Lawal Shiisu Adam, oluvanyuma lw’akabenje ku Lwokubiri ekiro, abantu bazze nga bangi nnyo era Poliisi yakoze ebintu eby’enjawulo okubatangira okugenda awali ekimotoka ne balemwa.
Akabenje kabaddewo ku ssaawa nga 5 ez’ekiro mu katawuni k’e Majia mu kiseera ng’abantu bagezaako okubba amafuta.
Kigambibwa ekimotoka ky’amafuta kyabadde kiva Kano okudda mu bitundu bye Nguru mu ssaza lye Yobe, kwekufuna akabenje.
Ddereeva akwatiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza era teyafunye buzibu bwonna.
Poliisi egamba nti egenda kweyambisa DNA okuzuula emirambo gy’abantu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=giPe1eFEGgE