Omubaka omukyala owa Kampala, Malende Shamim avuddeyo ku bigambo ebizze bitambula nti National Unity Platform (NUP) yateese ne Gavumenti okusobola okuyimbula abantu baabwe omuli ne Kanyama wa Bobi Wine, Eddie Mutwe.

Malende agamba nti ebiyiting’ana nti Eddie Mutwe yateebwa luvannyuma lwa kuteesa ne gavumenti bya bulimba era oyo ppokopoko akolebwa kumalamu bantu maanyi.

Ate ku nsonga y’abasibe bannakibiina ki NUP 16 abakkiriza emisango wali mu kkooti y’amaggye e Makindye ku Mmande nti kituufu basangibwa n’ebintu ebikola ebibwatuka, Malende era naye avuddeyo ku nsonga eyo.

Malende agamba kino kitegeerekeka kubanga nabo baagala okufuna ku ddembe lyabwe era nga bayinza okuba nga tebakkirizza lwa bintu byebaabasuubiza naye nga baayagadde kufuna ddembe lyabwe.

Wabula Shamim Malende alabudde bannabyabufuzi ku kukkiriza emisango gyebatakoze nti kiyinza okubakosa mu biseera eby’omumaaso.

Eky’okwambaza Sanya Muhuydin Kakooza essaati ya NRM baakibaze bubi era kyalabisizza abaakipanze kubanga ffe tumanyi omutima gwe ne ky’akkiririzaamu.

Malende era alemeddeko, agamba nti “twagala akakiiko k’eddembe ly’obuntu kaveeyo kalangirire nti kali mu buwambe kubanga n’omugaso gwako gulinga ogutaliwo era abakakulira baatutegeezezza nti gavumenti eri mu nteekateeka ya kubagatta n’akakiiko akalwanirira obwenkanya ka ‘Equal Opportunities Commission’”.

Malende era agamba ekya gavumenti okutwala abantu ba bulijjo mu kkooti y’Amagye kikolebwa mu bugenderevu wadde nga kya bumenyi bwa mateeka.

Okusinziira ku Malende, kino kikolebwa kutiisatiisa bantu abali ku ludda oluvuganya gavumenti n’okunafuya emitima gy’abakwatiddwa bave ku by’okulwanirira enkyukakyuka.

Wabula ono agamba wadde kiri bwekityo, bbo tebagenda kuva ku mulamwa era bajja kusigala nga balwanirira enkyukakyuka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=o7kf4lXGkZc